Ebyobulamu
Abe Lwengo bajjanjabiddwa
Abantu abasoba mu 500 mu disitulikiti ye Lwengo bajjanjabiddwa mu nkambi y’ebyobulamu ekubiddwa mu nkambi y’amaggye e Kasajjagirwa
Mu nkambi eno ebadde ku kisaawe e Kyazanga, abantu bakebereddwa n’okujjanjaba endwadde ezitali zimu ng’omusujja gw’ensiri, senyiga, emitwe, ebifuba, kko n’ekusomesa abakyala n’abaami kun kola z’ekizaala ggumba.
Omwogezi w’enkambi ye Kasajjagirwa Lt. Col. Lwemijuma Ninsiima,agamba nti basinze kutunuulira abantu batasobola kwetusaako bujjanjabi
Yye RDC we Lwengo, Christopher Kalemba asiimye ab’amaggye olw’okuyamba okutumbula ebyobulamu mu disitulikiti ye Lwengo