Ebyobulamu
Eddagala liriwa
Abakugu mu byobulamu bagaala gavumenti ekkirize abantu abatalina mukenenya okukkirizibwa bemire eddagala erikozesebwa ku bantu abali mu bulabe bw’okufuna mukenenya
Dr Noor Semiyaga okuva mu kitongole ekirwanyisa endwadde ezibuna amangu agamba nti eddagala lino lijja kuyamba okukendeeza abantu abakwatibwa ekirwadde kya siriimu
Ono agamba nti eddagala lino balikozesezzaako ku bavubi n’abafumbo ng’omu talina bulwadde era nga likoze bulungi kyokka nga tebasobola kuliwa bantu balala kubanga tewali tteeka likkiriza kino
Dr Semiyaga agamba nti mu mawanga nga Kenya ne South Africa,eddagala lino liyambye nnyo okukendeeza ku mukenenya nga nawano kisobola okukola
Eddagala eryogerwaako, omuntu alikozesa Amira empeke emu buli lunaku okumala ebbanga eggere era ng’omuntu alikozesa tasobola kufuna kawuka