Amawulire

Sipiika Zziwa awummuziddwa

Ali Mivule

November 26th, 2014

No comments

zziwa

Sipiika wa palamenti y’amawanga ga East Africa Margret Zziwa awummuziddwa.

Ekiragiro ekiyimiriza Zziwa kiyisiddwa akakiiko akakola ku by’empisa .

Kati Munna UPC Chris Opoka agenda kugira ng’akola emirimu gy’obwa sipiika mu nnaku 21 Zziwa z’anamala nga tali mu ntebe.

Opoka now speaker

Ekiteeso ekiwummuza Zziwa kiyisiddwa omubaka Abdallah mwinyi.

Ekiteeso ekyemulugunya kunkola za Zziwa kati kitegeeza nti kyakuleetebwa nga ssi sipiika

Zziwa aludde nga yezooba n’abagaala okumujjamu obwesige nga bamulanga kulemererwa mirimu nga bano bikumwaamu omuliro gweyali avuganya era munna NRM munne, Dorah Byamukama.

Gyebuvudde yavaayo n’ategeeza nga bw’atajja kulekulira k’abe lubaale oba katonda