Amawulire
Omusawo eyakuba omwana empiso ya siriimu ayimbuddwa
omusawo eyasibwa emyaka 3 olw’okukuba omwana omuto empiso gy’amaze okwekuba nga ate alina siriimu ayimbuddwa.
Rosemary Namubiru nga aweza emyaka 64 y’asambira emabega nga ejjanzi oluvanyuma lw’omulamuzi wa kkooti enkulu Rugadia Atwoki okulagira ayimbulye.
Kkooti ya Buganda Road y’aggalira Namubiru emyaka 3 oluvanyuma lw’okumusingisa omusango gw’obulagajavu nga kyaali kisobola okuviirako omwana ono okufuna siriimu.
Wabula Namubiru azze ajulira ku kibonerezo kino nga yemulugunya nga omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Olive Kazaalwe bw’atetegereza bulungi bujulizi kweyasinziira okumusingisa omusango guno .
Nga awa ensala ye, omulamuzi Atwoki ategezezza nga bwakkiriziganya n’ekya kkooti ya Buganda Road okusingisa Namubiru omusango guno naye nga okusibwa okuva mu January omwaka guno kimala okuboneza omusawo ono.
Amangu ddala nga amaze okuyimbulwa, Namubiru ategezezza nga bw’asonyiye buli azze amwogerako ebyakalebule era neyetondera buli gw’eyakosa mu mbeera eno.