Amawulire

ZZiwa ayongedde okutabuka- teri kumpozesa

Ali Mivule

December 2nd, 2014

No comments

ZZiwa, Dorah Museveni

Eyawummuziddwa ku bwa sipiika wa palamenti ya East Africa Margaret Ziiwa agamba nti tajja kulabikako mu kakiiko akakwasisa empisa nga bweyalagiddwa.

Zziwa yawummuzibwa ku bwa sipiika n’asikizibwa munna UPC Chris Opoka  okusobozesa akakiiko akamunonyerezaako okukola emirimu

Kati Zziwa agamba nti tajja kulabikako mu kakiiko kubanga kakulirwa Dorah Byamukama aludde ng’amulwanyisa era nga yali yamwesimbako kale nga tayinza kubulamu kyekubiira.

Zziwa agamba nti okusika omuguwa okuliwo mu babaka ba Uganda tekwonoona linnya lye yekka wabula n’erya Uganda