Amawulire

Uganda nkugu mu kulya enguzi

Ali Mivule

December 3rd, 2014

No comments

Corruption

Uganda ekyakwata kya ku mwanjo mu mawanag agasinga okulya enguzi mu nsi yonna

Ku mawanga 175 agatunuuliddwa, Uganda ekwata kya 142 okuva wansi ku mawanga agasinga okulya enguzi

Bino bifulumidde mu alipoota ekoleddwa ekibiina kya Transparency International ng’eraga nti Uganda Uganda ne Kenya ge mawanga agasingamu enguzi ku ssemazinga wa Africa.

Yyo Somalia y’esinga okulya enguzi ku semazinga wa Africa.

Mu mawanga agakola obulungi kwekuli Rwanda, Lesotho, Namibia ne Mauritius.

Akulira ekibiina ekigatta bannekolera gyange ekya Private sector Foundation Gideon Badagawa agamba nti enguzi nabo ebakosa kubanga bakozesa ensimbi mpitirivu okutambuza emirimu  kubanga baba balina okugulirira

Ono agamba nti yadde Uganda erina buli ekyetaagisa okulwanyisa enguzi, kizibu nnyo okuggwaawo kubanga abantu benyini abakulira ebitongole bino bagirya

Bino byogeddwa nga Uganda ekuza ssabbiiti y’okulwanyisa enguzi.

Bbo Bannaddiini balumbiddwa olw’okusirika obusirisi ku nsonga z’enguzi esensedde eggwanga.

Okusinziira ku Faaza Gaetano Batanyenda , bannaddiini basobola okubuulirira abantu okwewala enguzi kyokka nga basirise

Faaza Gaetano agamba nti ssinga bano boogeza eddoobozi ly’omwanguka nga bwebaakola ku bisiyaga osanga ebintu byandikyuseemu.