Ebyobulamu
Etteeka ku bujjanjabi bujja
Ababaka mu palamenti basemberedde okumaliriza enteekateeka z’okubaga etteeka erinasobozesa abantu okufuna obujjanjabi nga bwekirina okuba.
Omubaka we Kigulu mu bukiikaddyo Milton Muwuma agamba nti ebbago ly’etteeka lino likyetegerezebwa ekitongole kya gavumenti ekola ku by’amateeka olwo balyooke balireete
Muwuma agamba nti etteeka lino lijja kusobozesa abantu okufuna obujjanjabi awatali kusosola nga kitegeeza nti omuntu yenna asobola okugenda mu ddwaliro lyonna nebamujjanjaba
Abalwadde era bajja kubeera n’omukisa okumanya abasawo ababajjanjaba obuyigirize bwaabwe oba naddala balina obukugu obubakolako.
Omulwadde yenna era ajjakubanga n’eddembe okufuna abagenyi abamukyaalira ku ssaawa yonna
Omubaka Muwuuma agamba nti etteeka lino lyetaagibwa mu Uganda okusobola okutereeza eby’obujjanjabi
Yye akulira ekibiina ekirondoola ebikozesebwa mu by’obulamu Robinah Kaitiritimba agamba nti etteeka lino lijja kuyamba abalwadde n’abasawo era nga lyandibadde liwagirwa buli Muntu.