Amawulire
Abawala bafumbirwa bato
Alipoota efulumiziddwa eraga nti abawala e Uganda abasinga bafumbirwa ku myaka 13.
Alipoota eno ekoleddwa mu situlikiti ye Mayuge ne Sembabule n’eraga nti abazadde batuuka n’okusindika abaana baabwe mu bufumbo nga balaba bakuze.
Kino kibaawo yadde kiri lwaatu mu ssemateeka nti omuwala akulira ku myaka 18.
Kakensa okufa mu ttendekero ku nsonga z’abakyala n’ekikula ky’abantu ku ttendekero lye Makerere Grace Kyomuhendo agamba nti mu kunonyereza kwebabaaddeko bakizudde nti n’abaana beebafumbiza bakyagaala era bangi oluusi baba beefumbiza na dda.
Agamba nti ensonga eno erina okukolebwaako kubanga yeemu ku ziremeserezzaawo obwaavu
Ono era agamba nti ne ba senga baava dda ku mirimu gyaabwe ekivuddeko abawala okwagala okunonyereza ate nebajjamu ebizibu
Bino bizze ng’ennaku ekkumi n’omukaaga ez’okuvumirira okutulugunya abakyala zigenda mu maaso