Amawulire

Omusuubuzi omugundiivu akwatiddwa lwa ssejusa

Ali Mivule

December 11th, 2014

No comments

Bhuto

Waliwo omusuubuzi omututumufu wano mu Kampala akwatiddwa e Kjjansi lwabigambibwa nti aweereza  Gen David Ssejusa ensimbi gyeyaddukira.

Poliisi yazinzeeko amaka ga Francis Butto Matovu e  Lwezza nebaganibwa okuyingira okutuusa ku ssaawa 3 ez’okumakya lwafulumye.

Munnamateeka wa Matovu Michael Mabike amangu ddala y’atuuse mu maka g’omuntu we n’ategeeza nga poliisi bwetabadde nabiwandiiko bijikiriza kukwata Muntu we nga era buli kyebaakoze ky’abadde kimenya mateeka.

Guno mulundi gwakusatu nga  Matovu akwatibwa ku bigambibwa nti y’ayitiramu ssente za Ssejusa nga ogwasooka gwali mu mwezi  gwa 8.