Amawulire

Omukozi alumirizza bakama be okumutulugunya

Ali Mivule

December 12th, 2014

No comments

maid torturer 2

Omukozi eyatulugunya omwana wa mukamawe yewozezzaako nga bweyatulugunyizibwa maama w’omwana ono nga tanaliisa mwanawe kakanja .

Nga tannakiriza misango mipya egy’okulumya omuntu n’amutuusako obuvune, Jolly Tumuhirwe awunikirizza kkooti nga omukyaala w’awaka Mbabazi Kamanzi bweyamutuntuzanga nga tanagenda ku mulimu.

Tumuhirwe ategezezza nga nga Mbabazi olumu bweyegayirira omukyaala ono  okumuwa ssente z’entambula adde ewa mugandawe wabula neyerema.

Mungeri yeemu Taata w’omwana eyatulugunyizibwa  Eric Kamanzi asabye kkooti esalire Tumuhirwe ekibonerezo ekisembayo eky’emyaka 5 lwakulumya muwalawe atalina musango nga y’akikolera ebbanaga kale nga tasaanye kubeera mu bantu.

Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Lilian Buchana  kati omusango agwongeddeyo okutuusa nga 15 December lwagenda okuwa ekibonerezo.

Okusooka akulira oludda oluwaabi akyuusizza emisango egivunanibwa omukozi ono n’amugyako egy’okutulugunya nebamuggulako gwa kulumya Muntu n’amutuusako obuvune.