Amawulire
Mbabazi yeegaanyi ekyo’kwekandagga
Agava mukibiina kya NRM galaga ng’olukiiko olukulu olufuga ekibiina kino luyite Central Executive Committee bwelusazeewo nti ssentebe w’ekibiina kino abeere n’obuyinza okulonda ssabawandiisi w’ekibiina kko n’omumyukawe.
Amyuka omwogezi wekibiina kino Ofwono Opondo atubuulide nti kino okutuukibwako wabadewo okusika omuguwa, era nga kino kyaviirideko n’eyali ssabaminister, John Patrick Amama Mbabazi, okwamuka olukiiko luno nga ali wamu ne mukyalawe.
Tutegeeedwa nti Mbabazi ne mukyalawe Jacquiline Mbabazi nga ono y’akulira ekiwayi kyabakyala mu kibiina kino bakwataganye kumikono nebaamuka olukiiklo luno bwebakikaksiza nti olukiiko luno lugenda kukakasa ebisalidwawo.
Opondo atubuulide nto ob’olyawo mabazi yabade asuubira obuwagizi okuvva eri ekiwayi kyabavubuka ekikulirwa, Denis Namara kko nekyabasuubuzi ekikulirwa Hassan Basajabalaba, wabula kubano mpaawo yakiwakanyizza..
Kati bino ebisalidwawo byebigenda okukubagnmyzibwako ebirowoozo olunaku ol’wenkya mu tabamiruka owawamu.
Wabula obubaka Mbabazi bwatuweereza atugambye nti sikituufu nti yewagudde nafuluma olukiiko luno, nagamba nti yasoose kusaba ssentebe wokuliiko afuluma asobole okugenda yetegerze enongosereza ezigenda okukolebwa mu ssemateeka wekinina, sosi kwegula nga opondo bwabisaze .
Mumalala getufunye okuvva mu kibuga , galaga nga police kko namagye bwegayiiridwa okwwetorora ekibuga kyona okwetegekera tabamiruka ono
Mubitundu nga ekibangirizi kya ssemateeka wano kukibangirizi kya railway Ben Kiwanuka Street, Luwum streat kko n’enguudo endala zona zijudde magye wabula nga gatambula butambuzi
Bino webijidde nga ssabaduumizi wa poliisi ga uganda Gen kale kaihura kyagye ategeeze nga poliisi bwetegesse okukwata omuntu yenna anenyigira mukutabula tabamiruka ono.