Amawulire
Ababbi 2 batiddwa e Kololo
Poliisi eriko abasajja 2 besse wano e kololo, nga bano babadde bagezaako okunyaga ensimbi okuva kubabadde bazitambuza
Abatidwa kuliko Zubair Tweheyo n’omulala atanamanyika manyage , sso nga yye zubair Ali nga ono yabade abalagirira amakubo akwatidwa .
Bano okutibwa babade bagezaako okunyaga ensimbi okuva ku motoka number UAR 299 x ebadde atambuza ensimbi eza kampuni ya Top finance bank , nga eno ebadde ezigya ku banka eya Housing finance e kololo .
omugoba we motoka eno Musa ssebide ategezezza nti ababbi bano baamutegeeza ku lukwe lwabwe nebamusuubiza omutemwa , wabula naye nategeezako bakamabe kko ne poliisi
yye akola ku by’okunonyereza kubuzzi bw’emisamgo ku poliisi ya Jinja road Ronald Boogere, akakasizza bino, wabula n’asaba abantu okwewala okutambuza ensimbi nga tebalina bukuumi bumala