Amawulire

ssentebe Mapenduzi ye ssentebe esinze omwaka guno

Ali Mivule

December 16th, 2014

No comments

mapenduzi

Alipoota erambika enkola ya gavumenti  ez’ebitundu eyabuli mwaka giyite local government score card efulumzidwa , nga eraze nga gavumenti  zino bwezikolera ddala obulungi, naddala mu kukwatagana n’abantu babulijjo

Alipoota eno eyakoledwa ekitongole ekya ACODE eraze nga ssentebe  wa disitulikiti ye Gulu Martin Ojara Mapenduzi bwakize banne mu kukola obulungi, sso nga ye ssentebe wa disitulikiti ye Kamuli Salam Musumba akutte kyakubiri.
kuno okunoonyereza kwakolebwa mu district 30 kwezo 136 eziri mu Uganda

Mungeri yeemu yye minisita  akola ku govumenti  ez’ebitundu Adolf Mwesige azeemu okutegeeza  nga govumenti bw’egenda okubakwatizaako mukukola ku by’enguudo

ono agamba nti bategesse okwongeza ku mutemwa ogugenda mu govumenti  z’ebitundu nga gwakukola ngudo, era nga kino bakukitukiriza nga bakendeeza kwezo ezitekebwa mukitongole ky’ebyenguudo ekya Uganda National Roads Authority.

kinajukirwa nti omwaka gwebyensimbi 2014/2015, UNRA yaweebwa obuwumbi 146 bwogerageranya n’obuwumbi  136 ezaasasanyuibwa mu district 112 .