Amawulire
Omwana asaze mukuluwe Embalu
Ku Kyaalo Kamonkoli mu disitulikiti ye Budaka waliwo omwana ow’emyaka 4 katono akutuleko obusajja bwamukuluwe bwagezezaako okumutayirira nga agegenya abasala embalu.
Omwana ono abadde agezaako okukoppa abagisu nga bwebasala embalu nga era ababiri bano basoose kuzina kadodi oluvanyuma n’akekejula munne kamanya katono amukutuleko era asangiddwa atudde mu kitaba ky’omusaayi .
Eyefudde omusazi w’embalu ono ategerekeseko erya Nfuko nga era kigambibwa nti abadde n’akajirita akooji olwo n’akekejula munne.
Bazadde b’omwana ono basobodde okuddusa gwebasaze mu ddwaliro okusobola okutayirirwa obulungi nga kati azze engulu.
Bino webijidde nga abagisu kyebajje bakomekereze omwaka gwabwe ogw’okusala embalu nga wano omulenzi olumala okumusala nga afuuka omusajja.