Amawulire
Ssabawolereza Nyombi ajereze bannamateeka
Ssabawolereza wa gavumenti atabukidde abakulira ekibiina ky’abannamateeka mu ggwanga lwakwagwala kumulemesa mulimu gwe oluvanyuma lw’okumusaba alekulira nga bagamba emirimu gimulemye wabula kkooti n’egoba okusaba kwabwe.
Bannakibiina bano baawalawala Nyombi okutuusa mu mbuga z’amateeka nga balumiriza nga bwasusse okuwabya gavumenti nga agiwabula ekifuulanenge ku nsonga z’amateeka nga era baamuvumirira ku ky’okuwabula omukulembeze w’eggwanga okuddamu okulonda Benjamin Odoki ku bwa ssabalamuzi bw’eggwanga wamu ne Gen Aronda Nyakayirima ku bwa minisita w’ensonga z’omunda w’eggwanga.
Kati bwabadde ayogerako eri bannamawulire , Nyombi atadde akaka n’alangira abakulira ekibiina kino obutamanya kyebakola nga baagala okumweyimbamu ky’agamba nti buli kimu kyali kimenya mateeka.
Mungeri yeemu akulira ekibiina kino Ruth Sebatindira akkirizza nga bwewaaliwo ensobi ezakolebwa.