Amawulire
Emirambo mu kitoogo
E Busega abatuuze bagudemu ekyobeera, bwebasabasanze omulambo gw’omwana wa mutuuze munaabwe nga gusuulidwa mu kitoogo kye Lubigi.
Ono amanyidwa nga Kiseka, kigambibwa nti abade atutte ebanga lya naku biri nga abuze, wabula mutundu lya leero asangidwa nga afiiride mukitoogo
Mungeri yeemu poliisi eriko omulambo gw’omusajja ow’emyaka 24 gwenyuludde okuva mu kitoogo kye Busega.
Kigambibwa nti William Nsubuga nga mutuuze we Nsambya Mponye zone abadde abuze okumala ennaku 2 nga era poliisi nebazadde be babadde bali ku muyiggo.
Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano Patrick Onyango , omulambo tegusangiddwako binuubule byonna nga era kigambibwa nti yali mulwadde wa mutwe.
Omulambo gutwaliddwa mu ddwaliro e Mulago okwongera okwekebejebwa.