Amawulire
Abasoma obusawo e Mulago beediimye
Abayizi abasoma obusawo nga bayambako okujanjaba mu ddwaliro ekkulu e Mulago bediimye nga kanaluzaala ava ku butasasulwa nsako yaabwe.
Bano nga basoba mu 150 bagamba nti tebanasasulwa nsako yaabwe eyakakadde akamu n’ekitundu okuva mu mwezi ogw’ekkumi omwaka oguwedde.
Abayizi bano kuliko abagaba eddagala, abalongoosa n’abajanjabi ababulijjo bagamba betaagibwa okukola essaawa ezisoba mu 12 buli lunaku kale nga tebasobola ku kukola mirimu mirala ekibakalubirizza obulamu.
Yye omwogezi wa minisitule y’eby’obulamu Rukia Nakamatte ategezezza nga ekizibu kino bwebakimanyi nga era bakola ekisoboka okulaba nga babasasula n’abasaba okusigala nga bakkakamu.