Ebyobulamu
Eby’okucanga abaana e Mulago bilinnye enkandaggo
Waliwo ekibinja ky’abasawo nga kwogasse abalwanirira eddembe ly’obuntu abalumbye eddwaliro ekkulu e Mulago nga baagala okunyonyolwa lwaki okucaangacanga abaana mu ddwaliro lino kususse nga abazadde baweebwa n’abaana abatali baabwe.
Kino kiddiridde omwami Fred Sunday ne mukyaalawe Province Atwongire okulumiriza nga bwebaweebwamu omulambo gw’omwana omulala mu kifo ky’omwana waabwe gwebazaalira mu ddwaliro lino.
Ekibinja kino kikulembeddwamu ekibina ekilwanirira eddembe ly’obuntu ku by’obujanjabi ekya Center for Health Human Rights and Development’s Nakibuuka Musisi , nga baagala banyonyolwe kino kituukawo kitya.
Yye omwogezi w’eddwaliro lino Enock Kusasira ategezezza nga bwebagenda okutegeka olukungaana lwabannamawulire ku ssaawa 8 okwenyonyolako.
Bbo abafumbo bano ababiri batwaliddwa mu ggwanika gyebagenda okukeberebwa mungeri ya ndaga butonde eya DNA okukukakasa oba ddala omwana gwebaabawa nga afudde yali waabwe.