Amawulire
Ebye Mukono-Katosi bigenze mu kkooti
Akakiiko akassibwaawo okunonyereza ku mivuyo mu kuzimba oluguudo lwa Mukono Katosi kakonkomadde nga kalinda minister omubeezi akola ku byenguudo kyokka n’atalabikako
Stephen Chebrot yategeeza ababaka ku kakiiko kano nti yakakasizza ababaka nga bw’ajja okubalaba olwaleero kyokka mu ssaawa envanyuma n’atalabikako.
Akulira akakiiko kano Eng Sekitoleko Kafeero alagidde omuwandiisi wa palamenti okuddamu okuyita minisita ono nga ssinga agaana bakukola ebyaabwe
Akakiiko kano kati kakusisinkana omukulembeze w’eggwanga olunaku lw’enkya.
Yyo kkampuni y’aba merika eyali yapatana omulimu gw’okuzimba oluguudo lwa mukono katosi eya EUTAW eddukidde mu kkooti ng’eyagala eyimirize eby’okubagoba ku mulimu.
Kkampuni eno omusango egutadde mu kkooti etaputa ssemateeka ng’awakanya eky’okubajjako kotulakiti ey’obuwumbi 165.
Bayise mu bannamateeka baabwe aba Muwema and co advocates ng’era bawakanya eby’okufuna kontulakita omupya
Omulamuzi Elidad Mwangushya enkya lw’agenda okuwulira okusaba kwaabwe.