Amawulire
KCCA yeddizza paaka- aba taxi bawanda muliro
Abagoba ba Taxi mu Kampala baweze okusimbira ekkulu ekiragiro kya Government, okuwa KCCA ne Poliisi olukusa okudukanya paaka zona eziri mu mateeka mu kibuga.
Olunaku lwalero minister w’ebutebenkevu mu ggwanga Muruli Mukasa alangiridde nga KCCA ne Poliisi bwebawereddwa obuyinza okuddukanya paaka zona, oluvanyuma lw’okusika omuguwa okweyongera mu bagoba ba Taxi.
Minister era alagidde akakiiko ka Tapscom kasattululwe nga kano kabadde kawalangana n’ekibiina ekigatta badereeva ne ba kondakita wano mu Kampala.
Wabula Ssentebe w’ekibiina ekigatta badereeva ba taxi, ab’ebimotoka ebinene ne Bodaboda Abdullaha Kitata agambye nti bo bino tebagenda ku bikiriza kubanga balina obukulembeze obwalondebwa mu mateeka.
Ono akunze badereeva bonna okukunganira mu kisaawe ky’e Nakivubo ku lwokubiri lwa wiiki ejja okwongera okukubaganya ebirowooza ku kisaliddwawo.
Poliisi erabudde abakulembeze ba taxi okugoberera amateeka nga tebannapapa kwezza paaka zitali zaabwe.
Omuduumizi wa poliisi mu kampala n’emiriraan Haruna Isabirye agamba nti aba taxi keekadde bakwatagane ne KCCA okulaba nti omulimu gwaabwe gutereera.