Ebyobulamu

Balongooseddwa

Ali Mivule

January 12th, 2015

No comments

Surgery new

Abalwadde abasoba mu 1000 beebalongoseddwa mu nkambi ekubiddwa ku ddwaliro lya Mutakoha erisangibwa e Mbarara.

Okulongoosa kuno kukulembeddwaamu Dr. Yvonne Ying ne Dr. Reid okuva mu Canada.

Omukugu mu by’okulongoosa abantu abalina obulemu ku ttendekero ly’ebya sayansi e Mbarara Dr. Justina Najjuka agambye nti basinze kulongoosa abalina ebiwundu by’emiriro, bannakimu n’obulemu bw’ebika ebirala

Ono agamba nti bassaawo enkambi eno okuyambako kubanga abalongoosa ab’ekika kino batono mu ggwanga nga babadde balina okukozesa akakisa k’abasawo bano okujja mu ggwanga