Amawulire
Eyakuba ow’amawulire yeeyimiriddwa-Bannamawulire bekandazze
Omupoliisi eyakuba munnamawulire emiggo yeyimiriddwa oluvanyuma lw’okulabikako mu kkooti ya Buganda road olunaku lwaleero.
Jorum Mwesigye agguddwaako misango gyakulumya Muntu, okumutusaako ebisango n’okwonoona ebintu.
Kigambibwa nti emisango gino yagizza nga 12 omwezi guno bweyali mu maaso g’ebbaala ya Florina esangibwa ku luguudo lwe Namirembe.
Avunaniddwa kukuba munnamawulire Andrew Lwanga n’okwonoona camera 2 okuli eya Lwange ne Joseph Sematimba owa Bukedde
Alabiseeko mu maaso g’omulamzu Sanyu Mukasa amuyimbudde ate abamweyimiridde bakusasula obukadde 2 ezitali za buliwo
Lwo olukiiko olwatiddwa gene Kale Kaihura olw’abannamawulire abeekalakaasa gyebuvudde luzzeemu kigoye Gen Kaihura bw’abatuuzizza era okukkakkana ng’abawerezza Afande Enanga