Amawulire
Abe Nkumba bazzeeyo
Abayizi b’ettendekero lye Nkumba abaali baagobwa olw’okwekalakaasa basambira mageba nga jjanzi oluvanyuma lw’okukkirizibwa okuddayo basome.
Yunivasite eno eyise mu munnamateeka waayo Andrew Munanura, awaddeyo ebbaluwa eri omulamuzi wa kkooti enkulu Yasin Nyanzi ekkiriza abayizi bano okudda basome.
Omulamuzi kati fayilo y’omusango guno agisindise mu kkooti e Nakawa kubanga ekitundu ky’Entebbe kiri wansi wa kkooti ye Nakawa era bebalina obuyinza okuwulira omusango guno.
Munnamateeka akiikiridde abayizi bano Rian Chemsuto ebivuddeyo tabigaanye.