Amawulire

Omu afiiridde mu kabenje

Ali Mivule

January 22nd, 2015

No comments

Accident Bus in accident on Masaka road

Omuntu omu afiiriddewo n’abalala 36 okubadde n’abaana abawere basatu nebaddusibwa mu malwaliro okuli Gombe ne Nkozi nga bali bubi oluvanyuma lw’okugwa ku kabenje.

Kino kiddiridde bbaasi mwebabadde basaabalira okuseerera  wakati mu lukubakuba olubadde luwandagirira neeremerera omugoba waayo neyekatta ennume y’ekigwo.

Bbaasi eno No. UAP 889L nga ya kampuni eya Bismarkan Coaches egudde mu kitundu ekimanyiddwa nga Kalandazzi okumpi n’akabuga k’e Buwama e Mpigi.

Aduumira police y’ebidduka mu bitundu ebya Mawokota South Bedah Katureebe agambye nti bbaasi yandiba ng’ebadde ku misinde mingi n’eddereeva ng’avugisa kimama era nga ddereeva mu kaseera kano yabinnyise dda mu nsuwa.

Mu kifo kyekimu waliwo emotoka etambuza amata ekutte omuliro era ng’eno etaasiddwa police okusaanawo bwebakozesezza fire extinguisher ezibadde mu bbaasi okuzikiza omuliro.