Amawulire
Okulonda e Busia kutambula kasoobo
Abalonzi mu kulonda kwa ssentebe wa disitulikiti ye Busia bakyaali baamuswaba.
Okuva ku ssaawa 2 okulonda wekwaguddewo, abantu bakyaali baalubatu abajja okusuula akalulu kaabwe.
Bbo abesimbye 2 baasudde dda obululu bwabwe.
Munna DP Deo Njoki alondedde ku ssomero lya Buhorwe primary ate munna NRM Sam Owundo Wanyama alondedde Busiabala.
Bbyo eby’okwerinda bikyali gguluggulu nga abserikale ba poliisi bayiiriddwa buli wamu nga waaliwo n’abantu abakwatiddwa mu bitundu ebitali bimu.