Amawulire

NRM ewangudde Busia

Ali Mivule

January 23rd, 2015

No comments

NRM candidate Wanyama Stephen Oundo casting his vote at Bushiabala primary school in his home Lunyo sub county Busia district. Owor

Munna NRM Stephen Oudo Wanyama ye ssentebe wa disitulikiti ye Busia.

Oudo  y’amezze munnaDP eyasimbiddwawo ab’oludda oluvuganya gavumenti  Deo Njoki  n’obululu  31443 ku  21844 obwa Njoki.

Akulira okulondesa mu mu disitulikiti ye Busia  Sam Agaba yeyalangiridde ebyavude mu kalulu ku ssaawa nga 5 ez’ekiro nga era Oundo yafunye obululu ebitundu 59%.

Wabula tewabuzeewo birumira mu kalulu kano,omwabadde efujjo n’abalonzi ab’omuswaba.

Mungeri yeemu waabaddewo okulwanagana mu balonzi nga abamu beemulugunyizza olw’amanya gaabwe okubula ku nakalala kwebalondera n’okugulirira abalonzi.