Amawulire

Poliisi etandise okuwandiisa

Ali Mivule

January 27th, 2015

No comments

Poliisi recruits

Enkumi n’enkumi z’abavubuka bajumbidde okwendiisa mu poliisi okutandise olunaku olwaleero.

Poliisi esoose kuwandiisa ba kadeeti mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo olwo bawandiise am’amadaala aga wansi

Ba kadeeti abatunuuliddwa basoba mu 500 era ng’ebisanyizo diguli oba ebbaluwa endala egyefananyirizaako.

Wano mu kampala n’ebifo ebiriranyeewo okuli Entebbe ne Wakiso, okwewandiisa kuli ku ttendekero lya poliisi e Kibuli nga era bangi bawandisiddwa

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano  Patrick Onyango ategezezza nga buli kimu kitambudde bulungi.