Skip to content Skip to footer

FIGO yegasse ku bagaala ekya FIFA

Figo in

Kafulu w’eggwanga lya Portugal, Luis Figo yegasse ku lukalala lw’abo abagaala okukulembera ekibiina ky’omupiira mu nsi yonna ekya FIFA

Ono w’emyaka 42 nga yazanyirako mu Barcelona, , Real Madrid ne Inter Milan yegasse ku David Ginola eyesowolayo edda okuvuganya Sepp Blatter.

Abakaka kuliko Omulangira Ali okuva mu Jordan, omudaaki Michael van Praag ne Jerome Champagne.

Blatter abadde akulembera ekibiina kya FIFA okuva mu mwaka gwa 1998 era ng’ayagala kisanja kirala

Leave a comment

0.0/5