Amawulire
Abakyala bangi tebafaayo kukubwa- Alipoota
Abakyala 58 % wano mu Uganda balowooza nti kigwanidde okukuba abakyaala bwogeregeranya n’abaami 44% .
Kino kyeyolekedde mu alipoota y’ekibiina ekigatta amawanga ga Africa ey’omwaka guno ogwa 2015 eraze nga omuze gw’okutulugunya abakyaala, abawala wamu n’abalenzi abato bwegukyagaanye okuggwa mu ssemazinga wa Africa.
Ekikwaasa ennaku kwekuba nga obukadde n’obukadde bw’abawala eky’okubatulugunya bakiraba nga ekyabulijjo.
Alipoota eno eraze nga abawala 62% abali wakati w’emyaka 15-19 nabo eky’okukuba abakyaana bwebatakirabamu buzibu bwogerageranya nebanaabwe abalenzi abali mu myaka gyegimu .
Eggwanga lya Central African Republic yelikulembedde n’abaami abawuttula bakyaala baabwe ku nsi 26 ezikoleddwamu okunonyereza kuno nga abasajja 75 % okuswanyula bakyaala baabwe tebakirinamu buzibu.
Guinea y’eddako n’ebitundu t 66 % , Congo ku bitundu 62% nga eggwanga lya Malawi ly’erisingamu abasajja bakagogo eri bakyaala baabwe n’ebitundu 13 % .
Abasajja abasinga bakyawuttula bakyaala baabwe ku lw’ensonga ez’enjawulo okuli okuva ewaka nga tebabasabye, okulagajalira abaana ssaako n’okugaana okwegatta nabo mu nsonga z’omukwano.
Amawanga agasingamu okutulugunya okwekikula kino kuliko eggwanga lya Central African Republic, Guinea, Mali, Congo, Burundi ne South Sudan.
Alipoota eno efulumidde mu kiseera nga amawanga ga Africa geetegekera olusirika lwago olugenda okubeera mu kibuga Adis Ababa mu mu ggwanga lya Ethiopia wansi w’omulamwa ogutumbula eddebe ly’abakyaala.