Ebyobusuubuzi

Abasuubuzi bali ku mugano e Moroto

Ali Mivule

January 29th, 2015

No comments

traders in Kenya lose

Abasuubuzi bakozesezza akakisa k’enteekateeka z’amagye okukuza olunaku lwa Terehesita mu disitrulikiti ye Moroto ne baseera emmere mu kitundu kino.

Emikolo gy’omwaka guno gitambulira ku mulamwa ogugamba nti okujaguza eky’okugatta ekitundu kye Karamoja ku by’enfuna by’eggwanga.

Kati essowaani y’akawunga n’ebijanjaalo ya 3500 okuva ku 2500 sso nga ayagala okulya ku nyama kati osasula 3800 okuva ku 3000 sso nga enkoko  n’omuceere kati bya 7000 okuva ku 4000.

Yye soda wa 2000 okuva ku 1000.

Omu ku batunzi b’emmere Faridah Nambozo agtamba kati banoonya fiizi z’abaana .

Olunaku lwa Tarehe Sita lukuzibwa okujjukira olulumba olwasooka okukolebwa aba NRA ku nkambi ye Kabamba.