Ebyobulamu
Akawuka ka Ebola kakyuuse
Banasayansi abalondoola ekirwadde kya Ebola mu ggwanga lya Guinea bategezezza ng’akawuka akaleeta ekirwadde kino bwekatandise okukyuuka mu nkula yaako.
Abakugu bano ku ttendekero lya Pasteur mu ggwanga lya Bufaransa baagala kati kumanya oba akawuka kano kati keyongedde amaanyi mu kukwata okuva ku Muntu omu okudda ku mulala.
N’okutuusa kati bannasayansi bano bakyekebejja omusaayi gw’abalina ebola okubaako neddagala eryamanyi okujanjaba ekirwadde kino
Ebola yakatta abantu abasoba mu 8000 n’okukwata abasoba mu 20000 okusinga mu mawanga okuli Guinea, Sierra Leone ne Liberia.