Amawulire
Okulonda e Bugiri gwa mu gwakusatu
Akakiiko akalondesa kalangiridde olunaku lwa nga 19 omwezi gw’okusatu ng’ogw’okulonderako ssentebe wa disitulikiti ye Bugiri omuggya
Ekifo kino kyafuuka kikalu oluvanyuma lwa ssentebe Marijani Azalwa okusingisibwa omusango gw’okukuba munne bwebaali besimbyeewo David Mulengeni mu kulonda kwa 2011.
Akulira akakiiko akalondesa Eng. Badru Kigundu agamba nti abo bonna abagaala okwesimbawo bakuwandiisibwa nga 23 ne 24 era bayigge akalulu okumala ennaku 21.
Kiggundu agamba nti bakuddamu okuwanika olukalala lw’abalonzi okujjamu abaafa n’abasenguka
Abantu abasukka mu mitwaalo 14 n’ekitundu beebasuubira okulonda okuva mu bifo ebirondebwaamu 325.