Ebyobulamu
Okugezesa eddagala lya Ebola kutandise
Ettendekero lye Makerere litandise kawefube w’okugezesa eddagala erigema obulwadde bwa Ebola
Ekigendererwa kya kutegeera engeri eddagala lino gyeriyinza okukolamu ate nga terikosezza bantu
Akulira essomero lya Makerere University Walter Reed project Hannah Musoke agambye nti bagenda kugereza ku bantu 90 abali wakti w’emyaka 16 ne 65 ate nga balamu bulungi.
Musoke agamba nti abantu bano bakukubwa eddagala lino okulaba bwebanabeera mu mwaka gumu
Ono agamba nti eddagala lino okulikozesa bakusookera mu Dr Congo ne South Sudan.