Amawulire

Namungoona-bazze bakondoka

Ali Mivule

July 5th, 2013

No comments

Abantu abakosebwa omuliro ogwakwata eddwaliro lye Mulago bajja bakondoka mpola.

Omuvubuka ow’emyaka 17 gyokka abadde apooca n’ebiwundu naye afudde

Hassan Nsubuga y’omu ku bantu abaayokebwa omuliro ogwava ku ki loole ekyali kyetisse amafuta, ekyayabika nekituntumuka omuliro e Namungoona ku Northern bypass.

more die

Abantu abaasangibwa mu kitundu kino nga n’okusinga baali bavuzi ba pikipiki ezakazibwako erya bodaboda , abadduka okusena amafuta, bagyira mu muliro abamu ne bafa abalala ne baddusibwa e Mulago nga bataawa.

Abantu 25 be baddusibwa e Mulago mu mbeera embi naye kati basigaddeyo 7 ate nga nabo embeera yaabwe yeeralikiriza abalabi.

Ab’enganda z’abantu abaafiira mu muliro ogwava ku kimotoka ky’amafuta ekyayabika ne kyaka, nakati bakyewuuba mu ddwaliro e Mulago nga baagala baweebwe emirambo gyabwe.

Okusinziira ku b’eddwaliro, emirambo gino gyasirira nyo nga kizibu okutegeera omuntuwo, ekyavaako abantu okutandika okugikaayanira.

Ku nsonga eno ab’eddwaliro kwe baasinziira okuggya ku bantu omusaayi saako okukebera enyama y’abayokebwa bazuule banyini gyo

Abaakafa bali 41.

President M7 yadduukiridde abayokebwa n’obuyambi bwa nsimbi obukadde 5 buli muntu , nga zino zaggye mu mbeera abajanjabi bakira abazikaayanira, naddala abalina abayi abatasobola kwogera.