Ebyobulamu
E Mulago teri sikaani
E Mulago ekyuma kya sikaani ekyafa mu ddwaliro e Mulago kirese abalwadde bangi nga basobeddwa.
Jennifer Namwebe ow’emyaka 25 yomu kubalwade e Mulago, atutegeezeza nti atubidde n’omwana we ow’emyaka esatu eyafuna obuvune ku bwongo.
Namwebe agamba nti abalwadde abalala babasindise Namirembe ne Lubaga kyokka nga yye yasobeddwa kuba talina ssente
Mu malwaliro amalala CT sikaani eri wakati w’emitwaalo 25 ne 30 kyokka nga e Mulago giri emitwalo 12
Omwogezi w’eddwaliro lye Mulago Enock Kusaasira agamba nti ekyuma kino kyafudde lunaku lwajjo nga bali mu kukikola