Ebyobulamu
Lunaku lwa kokoolo- Uganda yakugema abaana
Olwaleero Uganda yegasse ku nsi yonna okukuza olunaku lw’okukandula ku maloboozi ku bulwadde bwa kokoolo
Olunaku luno lwassibwaawo okulaga abantu obubi obuli mu kokoolo na biki ebikoleddwa abantu, gavumenti n’abakulembeze b’ebitundu
Omwaka guno, olunaku lutambulidde ku nyingo y’okubeera abalamu, okwekebeza kokoolo, okufuna obujjanjabi n’engeri gyebuyinza okulwanyisibwaamu
Mu Uganda minisitule y’ebyobulamu erangiridde nti okugema abaana abawala kokoolo wa nabaana okwetoloola eggwanga lyonna kwakutandika mu gw’okuna ogw’omwaka guno.
Akola ku ndwadde ezitasiigibwa mu minisitule y’ebyobulamu Dr. Gerald Mutungi agamba nti bamalirizza byonna ebikwata ku ddagala erigema nga kati libali mu ttaano.
Dr.Mutungi agamba nti mu kugema kuno, batunuulidde abawala abali wakati w’emyaka 10 ne 14.
Ekigendererwa mu kino kikoleddwa kukendeeza ku bantu abafuna kokoolo wa nabaana n’ebitundu 99 ku kikumi.
Mu kadde kano, Dr Mutungi agamba nti mu kadde kano basomesa bantu ku kalungi akali mu kwegemesa kokoolo ono.
Abakyala 3,600 beebafuna kokoolo wa nabaana buli mwaka nga abawerera ddala 2,500 beebafa buli mwaka.