Ebyobulamu
Abasawo bannayuganda 100 bakwolekera obugwanjuba
Gavumenti yakusindika abasawo abasoba mu kikumi mu bugwanjuba bwa Africa okuyambako okulwanyisa ekirwadde kya Ebola
Kamisona atwala ekiwayi ekikola ku kiziyiza endwadde mu minisitule y’ebyobulamu Alex Opio agamba nti Ebola akyaali wabulabe eranga amawanga gonna gali mu bulabe okumufuna okuli ne Uganda
Opio agamba bukyanga bulwadde buno butandika nti abantu 900o beebafudde ekirwadde kya Ebola ate abalala emitwalo 22000 nebabufuna
Bino abyogedde atongoza kawefube atuumiddwa “Komya Ebola” ng’awomeddwaamu omutwe aba Airtel.
Mu kawefube ono bannayuganda bakusasibwa baweeyo shs 1000 eri kawefube ono.