Amawulire
Abatagoberera mateeka bakukwatibwa
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni aweze okufaafagana n’abo bonna abatagoberera mateeka.
Museveni okwogera bino abadde mu disitulikiti ye Moroto ng’amaggye gakuza olunaku lwa Terehesita olw’omulundi ogwa 34.
Museveni atenderezza amaggye ga UPDF olw’okulwana okujja emmundi mu mikono gy’abantu ba bulijjo era ng’emmundu 3200 zeezakafunibwa okuva mu mwaka gwa 2001.
Museveni agambye nti gavumenti yakwongera okutumbula eby’entambula mu kitundu kye Karamoja naddala ng’ekola enguudo.
Omukolo guno gwetabiddwaako abantu abalala bangi omuli ssabaminisita w’eggwanga Dr. Ruhakana Rugunda, akola nga ssabalamuzi w’eggwanga Steven Kavuma n’abalala.
Yye omuduumizi w’amaggye ly’eggwanga Gen Katumba Wamala ategezezza nga bannayuganda bwebasaanye okwenyumiriza mu maggye olwengeri gyegakolamu emirimu gyago.
Katumba Wamala agambye nti amaggye ga UPDF kati galina empisa era gakolagana bulungi n’abantu babulijjo.
Katumba Wamala era azzeemu okukkatiriza nti yadde nga UPDF eyamba okukuuma emirembe mu mawanga amalala, ku luno tebalina kigendererwa kyakusindika maggye mu Nigeria kulwanyisa bakambwe ba Boko Haram.
E Mubende abajaasi okuva mu nkaambi ya Mubende Rehabiritatoin Centre nabo begase ku banabwe okukuza olunaku lwa Terehista.
Bano bayonjeza ekibuga kye Mubende, wamu n’okuyimba enyimba eziraga obuwanguzi bwebatuuseko.
Amyuuka atwala enkambi eno Lt Col Francis Kasimbaazi ategezezza nga district y’emubende bweri eyebyafaayo kubanga essasi eryasooka lyakubibwa mu nkambi ye Kabamba esangibwa mu district ye Mubende.