Amawulire
Asse omupangisa we
Poliisi ye Ntusi mu disitulikiti ye Sembabule eriko omusajja gwekutte lwakukuba mupangisawe n’amutta lwakwokya faamu ye.
Steven Mwesigye akwatiddwa ku bigambibwa nti yakubye Didasi Munobi 47 okutuusa okumutta oluvanyuma lw’okumupangisa ettaka alimireko kasooli wabula n’ayokya ebisoolisooli okwetegekera okusimba kasooli mu sizoni empya naye omuliro negusaasana negusanyawo n’e faamu yamukamawe.
Mwesigye y’avudde mu mbeera oluvanyuma lw’okusanga nga omuliro gusanyizzaawo ensolo ze zonna olwo n’alonda ekiti n’akikuba Munobi ku mutwe n’amutta.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bino Noah Sserunjoji akakasizza okukwatibwa kwa Mwesigye nga okunonyereza bwekukyagenda mu maaso.
Agamba poliisi ezudde omulambo gwa Munobi ku faamu ya Mwesigye nga gusuuliddwa era nga kati gutwaliddwa mu ddwaliro ly’e Ntuusi okwongera okujanjabibwa.