Amawulire

Ebya Lukwago bikyaali

Ali Mivule

February 11th, 2015

No comments

Lukwago and collegues

Ebya Loodimeeya Erias Lukwago okudda mu wofiisi bikyalimu kigoye

Akulira oludda oluvuganya mu palamenti Wafula Oguttu ragamba nti enteseganya ezayogerwaako gavumenti zikyakandaliridde yadde nga bazirinze kuva mu mwezi gwa December

Oguttu agamba nti ssabaminista Dr Ruhakna Rugunda alina okukubiriza enteseganya zino buli lukya ayongezaayo olw’ensonga nti talina budde

Oguttu wabula agamba nti bakyalina essuubi nti biyinza okuvaamu ebibala.

Lukwago abadde tali mu ntebe okuba mu November oluvanyuma lw’omulamuzi Steven Kavuma okumugoba