Amawulire
Abasiraamu benyigire mu byobufuzi
Supreme Mufti alamulira e Kibuli asabye abayisiraamu obutasigala mabega mu biseera bino eby’okunoonya akalulu benyigire mu by’obufuzi by’eggwanga .
Sheikh Zubair Kayongo ategezezza nga eby’obufuzi bino bwebisobola okutwala ediini y’obusiraamu mu maaso.
Bino abyogeredde mu kusabira emyoyo gy’abagenzi e Kitosi mu disitulikiti ye Mpigi.
Seeka Kayongo era avumiridde ettemu eryongedde mu bitundu bye Busoga eritwaliddemu n’abakulembeze b’obuyisiraamu.
Wano w’asabidde gavumenti okuwa abakulembeze bonna awatali kusosola wabula n’asaba abasiraamu okukwata empola ebyo byonna eby’okukwata abasiraamu abateberezebwa okwetaba mu ttemu era ensonga eno bazirekere poliisi eyongere okunonyereza.