Amawulire
Ogwa Babaka gw amwezi gujja
Kkooti yokuntikko etaddewo ennaku z’omwezi nga 10 omwezi ogujja okuwulirako okwemulugunya kw’ababaka ba palamenti abana abaagobwa okuva mu kibiina kya NRM nga bawakanya n’eky’okugobwa ne mu palamenti.
Omulamuzi Stella Arach Amoko ku lwabanne abalala omukaaga ategezezza nga okuwulira omusango guno bwekuluddewo kwekuteekawo olunaku luno.
Ababaka aboogerwako kuliko Theodore Sekikubo owa Lwemiyaga County, Muhammed Nsereko owa Kampala eyamassekati , Wilfred Niwagaba owa Ndorwa East ne Barnabas Tinkasimire owa Buyaga County.
Abana bano baagobwa mu kibiina kya NRM oluvanyuma lw’okujeema okulabikako maaso g’akakiiko k’ekibiina akakwasisa empisa ku bigambibwa nti baamenya amateeka g’ekibiina.
Ekibiina kya NRM kikyalemeddeko nti omubaka bwagobwa mu kibiina aba balina okufiirwa ebifo byabwe mu palamenti wabula bbo ababaka bano bakalambira nti buvunanyizibwa bw’abalonzi okusalawo kino sso ssi kibiina.