Amawulire
Ekimotoka kibasaabadde
Abantu bana baddusiddwa mu ddwaliro ekkulu e Mulago nga biwala ttaka oluvanyuma lw’ekimotoka ekibadde kyetisse amatafaali okulemerera omugoba waakyo nekibasaabala wali e wa Bakuli.
Ku balumiziddwa kwekubadde ne dereeva waakyo.
Aduumira poliisi ya Old Kampala Emmanuel Ocamuringa ategezezza nga ekimotoka kino bwekigaanye okusiba nekikoona owa bodaboda abadde okumpi ssaako n’okuwalula ababadde ku gaabwe.
Akabenje kano ategezezza nga bwekavudde ku kuvugisa ekimama n’okutikka akabindo nga era poliisi ekyanonyereza.