Amawulire
Ekirwadde kirumbye aba Taxi
Abagoba ba Taxi mu bagaala wabeewo okunonyereza ku kirwadde ekyakatta abagoba ba Taxi bataano.
Akulira ba dereeva Mustapha Mayambala agamba nti obulwadde buno butandika na musujja era nga butta mu wiiki emu .
Mu kadde kano ba dereeva ne ba kondakita 20 beebali ku ndiri.
Wabula amyuka omwogezi wa KCCA Robert Kalumba asabye ba dereeva okwewala okulya ebijama nga nabo bwebanonyereza.
Siteegi ezikoseddwa kuliko Makerere, Kamwokya, Bwaise ,Bweyogerere n’endala.