Amawulire

Gavumenti etabukidde abaseegu- bana bakwatiddwa

Ali Mivule

February 17th, 2015

No comments

Lokodo

Abantu 4 beebakakwatibwa ku nsonga y’okusasanya ebifananyi by’obuseegu nga era baakuvunanibwa wansi w’etteeka ly’obuseegu.

Nga ayogerako ne bannamawulire wali ku ssengejjero ly’amawulire wano mu Kampala, minisita w’empisa n’obuntu bulamu Father Simon Lokodo ategezezza nga ku bakwate bwekuliko n’eyali muganzi w’omuyimbi Desire Luzinda nga ono ye  Franklin Emabour.

Ono wakuvunanibwa wansi w’etteeka ly’obuseegu

Lokodo  atenderezza nyo Desire Lizinda   olw’okubayambako okukwata eyali muganzi we  ono eyamwanika nga ali bwerere oluvanyuma lw’okufulumya obutambi bwe nga tali bukunya.

Lokodo era alangiridde olutalo ku mikutu gy’amawulire gyonna egisasanya ebintu by’obuseegu nga era kati gavumenti yakwekenenya  ebifulumira ku mikutu gino  okwewala ebyobuseegu okusaasanira mu ggwanga.

Lokodo agamba banji bakozesezza bubi omutimbagano gwa yintaneti nga waliwo abateekako ebifanananyi by’abalala nga bali bukunya olwo nebabasaba ensimbi obutabisaasanya.