Amawulire

Maama Fina azzeemu okulondebwa okukulira abasawuzi

Ali Mivule

February 18th, 2015

No comments

maama fina

Sylvia Namutebi amanyiddwa nga Mama Fina  kyaddaaki azzeemu okulondebwa ng’omukulembeze w’abasawo b’ekinnansi.

Okutikkira Maama Fiina ekitiibwa kino wabula tekubuzeeko katemba nga buli omu alaga amaanyi g’emizimu gye

Maama Fina era agenda kuba nga y’akulira abakola eddagala ly’ekinnansi.

Okulondebwa kwe kukomekerezza entalo ezibadde nga mu basawo bano

Ng’ayogerako eri basawuzi banne ,maama Fina agambye nti agenda kutandikira ku kumalawo njawukana.

Maama Fina ekisanja ky’afunye kya myaka etaano.

Yasooka okulondebwa mu kifo kino mu mwaka gwa 2006 era azze mu bigere ba Ben Gulu.