Amawulire

Teri kuntiisatiisa- Kiyingi

Ali Mivule

February 19th, 2015

No comments

Kiyingi returns

Munnayuganda omusawo nga awangaalira mu ggwanga lya Australia  Dr. Aggrey Kiyingi atemye  ssabapoliisi w’eggwanga Gen Kale Kayihura akakule ku by’okumukwatira mu Australia.

Kino kiddiridde  Gen Kale Kaihura okutegeeza nga bwebasobola okufuna obuyambi okuva eri poliisi y’ensi yonna nebakwata Kiyingi ku bigambibwa nti alina akakwate ku bayeekera abaagala okulumba eggwanga.

Wabula Kiyingi agamba ssimutiitiizi era yeetegese ekijja kijje wakwesimbawo ku bukulembeze bw’eggwanga avuganye pulezidenti Museveni.

Ono era ajunguludde eby’okumuggya mu ggwanga erilimu demokulasiya nga Australia kubanga tebasobola kukkiriza bumenyi bw’amateeka buno.

Wano nno w’asinzidde n’awera nga bw’agenda okugenda mu maaso n’ekigendererwakye  kye eky’okusiggukulula pulezidenti Museveni okuva mu ntebe.

Kiyingi ategezezza nga mu myezi 3-4 ajja kuba akomyewo ku butaka zaabike emipiira.

Okusika omugwa wakati wa gavumenti ne Kiyingi kwatandika oluvanyuma lwa gavumenti okutegeeza nga bwerina obujulizi nti ddala Kiyingi alina omukono mu kutibwa kw’abakulembeze b’abayisiraamu.