Amawulire
Katikkiro akunze ku bumu
Obumu bwebusobola okuzza Buganda ne Uganda ku ntikko ..
Obubaka buno buweereddwa Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga mu kusolooza ettaffaali kwaliko mu ssaza lya ssabasajja e Kyaggwe.
Katikiro ategezezza nga obumu bwebusoboloa okuleetawo obwenkanya mu ggwanga olwo amazima negagoberera nga era bino bikulu nyo mu nkulakulana y’eggwanga.
Katikiro era atabukidde bannabyabufuzi abasuubiza abalonzi baabwe empewo olw’okubulwa amazima.
Katikiro asookedde ku ssomero lya Bishops Senior Secondary School gyakunganyizza obukadde obusoba mu 6 sso nga ku municipaali ye Mukono akunganyizza obukadde obuli eyo mu 10 nga era ayaniriziddwa omusumba w’obulabirizi bwe Mukono Williams Ssebaggala.