Amawulire
Omusujja gw’omu byenda gubaluseewo mu Uganda
Minisitule y’ebyobulamu erangiridde nga bwewabaluseewo obulwadde bwa Typhoid mu Kampala, Mukono ne Wakiso
Abantu babiri bakakasiddwa okuba nga bafudde ate abalala 142 bbo balina obubonero naye ebivudde mu musaayi tebinnafuluma
Ab’ebyobulamu bakekebejjako abantu munaana era nebakakasa nti babulina
Atwala ebyobulamu mu minisitule y’ebyobulamu Jane Achieng agamba nti abalina ekirwadde kino beebakolera mu katale ke Nakasero , Nabukeera plaza, Total ye Nakivubo, Namirembe road ne mu paaka za Taxi
Abantu bano abakoseddwa bava mu bitundu bye Namungoona, Kibuli ne Namuwongo kko n’ebitundu ebirala.
Omusujja gw’omu byenda muyite Typhoid gutambuzibwa kawuka akaleeta omusujja ogulya omuntu ebyenda mpola
Akwuka kano katambulira mu mazzi nga ssinga omuntu abikwatako olwo aba awedde.
Mu nsi yonna tyhoid aluma abantu obukadde 21 buli mwaka nga ku bano abantu emitwalo 20 bafa
Omuntu okufuna obulwadde bwa Typhoid asooka kulya oba kunywa mazzi majama oba mu byangu nti ebiririddwa bibaamu kazambi
Akawuka kano kasobola okukulira era mu mazzi oba mu mmere nekamala wiiki eziwera
Abantua bali wakati w’ebitundu 3 n’ebitaano ku kikumi beebatambuza akawuka kano ssinga kaba kanyikidde
Kyokka era abamu bafuna omusujja guno ogw’omubyenda neguwona ng’omusujja omulala nga tegubakosezza nnyo.
Obubonero kw’olabira obulwadde buno
Obulwadde buno bumala mu mubiri wakati wa wiiki emu n’ebbiri era nga bwebuweza ssabbiiti ssatu oba nnya omuntu afuna obubonero okuli
Okukyaawa okulya, okulumwa omutwe, okulumwa omubiri gwonna, okufuna omusujja ng’omuntu ayokya nnyo n’okuddukana