Amawulire
Katikiro Mayiga atabukidde abalemesa Buganda
Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga awanjagidde abantu ba Ssabassajja okufaayo okulabirira abaana nokubasomesa kubanga lye’ssuubi lya Buganda ery’ebiseera ebyomumaaso.
Katikiro avumiridde ekyabazadde okumala gazaala nebasulirira obuvunayizibwa okulabirira abaana nga bawoza mbu buli mwana nomukisa gwe.
Abadde wa mutaka Charles Ssemanda mu kibuga Mukono gy’akunganya ettoffaali nategeeza nti enkola eno ya dda nyo tegwanidde ku mulembe guno Omutebi.
Wano w’ayambalidde bannabyabufuzi okuva mu gavumenti eya wakati abakyasimbira ekkuuli ekyokuzza ebintu bya Buganda sso nga enteseganya ezawagulu zatukibwako nti kino bakikomye.
Anokoddeyo ba ssentebbe bazi district, abamagombolola nabalala.